Zechariah 6:1-7

Okwolesebwa kw’Amagaali Ana

1 aNe nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo. 2 bEggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu. 3 cEggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi. 4Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”

5 dMalayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. 6Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”

7 eAwo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna.
Copyright information for LugEEEE